Nalongo Maggie Kaweesi afiridde mu ddwaliro ly'e Mengo akawungezi ke gulo nga ono ye yali mukazi w'omugenzi Emmanuel Mayanja eyali amanyiddwa ennyo nga AK47.
Okusinziira ku bolugandabe n'abamumanyi, Maggie yasooka kujjanjabwa mu Nsambya Hospital oluvannyuma natwalibwa mu Mengo Hospital mwe yafiiridde ku balaza ya wiiki eno nga, July 20, 2026.
Maggie abadde atawanyizibwa omusujja gwa nalubiri "sickle cell" era embeera ye yeyongera okwononeka oluvannyuma lw'okudda mu Uganda ng'ava ebweru.
Famire ya Ba Mayanja nabakungubazi abalalaba balabiddwako mu ddwaliro e mengo wabula nga entekateeka zokuziika tezinaba kufulumizibwa. Omwoyo gwomugenzi Mukama agulamuze kisa.